Amawulire

Amawanga 17 essuubi ely’okukiika mu mpaka za World Cup ligawedde

Amawanga 17 essuubi ely’okukiika mu mpaka za World Cup ligawedde

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Amawanga aga Africa 17 esuubi eryokukiika ku mpaka za world cup libaweddemu oluvanyuma lwokumaliriza enzannya zabwe ezomu bibinja mu mpaka ezokusunuslamu abanakiika.

Newankubadde bakyalinayo omukisa gwokulwanirira obubonero 6 tebasobola kuyita ku bali kuntiko ye bibinja. Kubawandusse kuliko Angola ne Togo nga zino zombie zakiikako dda mu world cup eyomwaka gwa 2006 World Cup mu Germany.

Angola erina obubonero 3 mu kibinja F era nga tebakyasobola kuyita ku Egypt abalina obubonero 10 songa Togo mu kibinja H erina obubonero.

Amawanga amalala agatagenda kukiika mu world cup omwaka ogujja ezigenda okuyindira mu ggwanga lya Qater kuliko Congo, Djibouti, Ethiopia, Guinea, Guinea-Bissau, Liberia, Kenya, Malawi, Mauritania, Mozambique, Namibia, Niger, Rwanda, Sudan ne Zimbabwe nga zino zonna tezikiika ngako mu world cup.