Amawulire
Amayembe galumbye abe Nalukolongo
Embeera ekyali ya bunkenke e kasenyi wali e Nalukolongo ng’amayumba 10 geegamaze okusanyizibwaawo,.
Amayembe agagambibwa nti gaagulwa omuntu atannaba kutegerekeka negamusaba abantu 7 era nga yattako babiri bokka.
Gano obwedda agoogerera waggulu era gategeezezza nga bwegetaaga obukadde buna okugenda oluvanyuma lw’okuwa eyagaleeta obugagga.
Akulira abasawo bekinansi mu ggwanga Mama Fiina yasuubizza okuyambako wabula nanenya poliisi okukuba amasasi mu byokoola bino.
Amayembe era galumba essomero lye kitebi nga galinnya ku mitwe gy’abaana ng’okugasigukulula kyaleeta bannadiini n’abasamize