Amawulire
America erabudde abantu baayo ku batujju
Eggwanga lya America lirabudde abantu baalyo ababeera wano okwegendereza abatujju abategeka okulumba Uganda mu biseera by’ekikopo ky’ensi yonna.
Empaka z’ekikopo kino zitandika ku lw’okuna lwa ssabbiiti ejja okutuukira ddala nga 13 omwezi gw’omusanvu omwaka guno.
Okulabula kuno kuzze nga bannayuganda tebannaba kwerabira banaabwe abattibwa mu bulumbaganyi bwa bbomu obwakolebwa e Kyaddondo ne ku Ethiopian Village restaurant e Kabalagala okukkakkana ng’abantu abasoba mu 70 balusuddemu akaba.
Mu kiwandiiko ekivudde ku kitebe kya America mu Uganda, abantu basaanye okwegendereza obutalabira mupiira mu bifo ebisika abantu abangi, oba eby’olukale.
Bano era basabye nti wabeewo okukaliga eby’owkerinda ku ma wooteeri, ku mabaala, mu bifo ebikungaanira emmotoka enyingi n’ebirala