Amawulire

Among asomoozezza Gavt kumateeka agalwanyisa okutulugunya abakyala

Among asomoozezza Gavt kumateeka agalwanyisa okutulugunya abakyala

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Sipiika wa palamenti Anita Among asomoozezza minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi n’okutumbula embeera z’abantu, okussa mu nkola amateeka agawera okutulugunya abakyala n’abawala olwékikula kyabwe.

Bino abyogeredde ku mukolo gw’okutongoza ennaku 16 ez’okulwanirira abakyala n’abawala ku palamenti, ezimanyiddwa nga 16 days of activism, agambye nti gavumenti tekoze kimala kumanyisa mateeka agaliwo agawakanya omuze guno.

Mungeri yeemu Among asabye abakwatibwako nabo okutunuulira abaana abóbulenzi mu kampeyini eno okuva bangi ku balenzi bwe bamaliriza nga bali ku nguudo nga kiva ku butabanguko.

Mu kwogera kwe, omubaka wa Budaaki mu Uganda Karin Boven, agambye nti bagenda kukolagana ne palamenti okulaba ng’obutabanguko obuva ku kikula ky’abantu bulwanyisibwa mu Uganda.

Mungeri yeemu minisita avunaanyizibwa ku gy’ekikula ky’abantu, abakozi n’okutumbula embeera z’abantu Betty Amongi avumiridde omuze guno gwagambye nti guwalirizza abaana abawala okuva mu masomero ne bafumbirwa nga bakyali bato.