Amawulire

Asudde omwana mu kabuyonjo

Ali Mivule

January 7th, 2015

No comments

Baby in toilet

Poliisi e Lugazi ekutte omukazi wa myaka 35 lwakuzaala mwana n’amusuula mu kabuyonjo

Aisha Nakyazze  nga mutuuze ku kyaalo Kikoma e Lugazi agambye nti abadde tasobola kulabirira mwana ate nga bba yamwegaana ng’agamba nti yye tazaala.

Nakyazze okukwatibwa kiddiridde abatuuze okumulaba nga takyali lubuto ate nga n’omwana talabikako.

Ssentebe w’ekyaalo John Musoke agambye nti omukyala ono yazadde bulungi mu ddwaliro lye Kawolo era n’asiibulwa kyokka kibaweddeko okuwulira nti ate omwana amutuusirizza mu kabuyonjo.