Amawulire

Asudde omwana we mu Kabuyonjo

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

Baby in toilet

Poliisi mu disitulikiti ye Lyantonde eriko omukazi ow’emyaka 35 gwekutte lwakusuula mwanawe mu kabuyonjo.

Machrine  Nahwera 35, nga mutuuze w’okukyalo Kasese ebbujje lino alisawuse mu kabuyonjo nga y’akamala okuzaala.

Olubuuziddwa lwaki akoze ettima lino , ategeezezza nga bwabadde teyekakasa taata wa mwana ono kubanga abadde aganza abasajja banji.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino , Noah Sserunjoji agamba poliisi etemezeddwako baliraanwa b’omukyala ono abamulabye nga talina lubuto ate nga bamaze ebbagnaga nga bamulaba nga muzito.

Agamba baliraanwa era bebakutte kalittima ono bwabadde agezaako okudduka ku kyaalo oluvanyuma lw’okutitegeera nti abadde ayigibbwa poliisi.