Amawulire
Atemye mukazi we
Poliisi ye Kyanamuka mu disitulikiti ye Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gwekutte lwakulumba eyamusigulira omukyaala n’amutematema.
Frank Kawooya 27 y’addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa Fred Kakooza okumulumba n’amutema embale ku mutwe n’emikono nga amulanga kumwagalira mukyalawe Monica Namutebi.
Kigambibwa nti Namutebi y’asuulawo eddya n’agenda ewa Kawooya ekyanyiiza Kakooza n’alumba amalemu eyamutwalira kabiitewe ejjoogo.
Okusinziira ku omu ku batuuze ategerekese nga Maria Kadida Kwooya akubye enduulu ebasombodde okulaba ogubadde era bamusanze ataawa nebamuddusa mu ddwaliro .
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji ategezezza nga bwebaakutte edda Kakooza ne kizibiti ky’ejambiya ejjudde omusaayi gyeyakozesezza okutema munne.