Amawulire
atemyeteemye mukyala we
Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eri ku muyiggo gw’omusajja ow’emyaka 37 eyakidde mukyaalawe n’amutematema n’ejambiya.
Omukwate ategerekese nga Grace Tenywa, omutuuze ku kyaalo Nakiswiga nga ono poliisi egamba y’asanjaze mukyaalawe Nangobi Zabinah.
Omuvunaanwa ono alina abakyaala 2 nga buli omu abeera mu makaage nga kwolwo ssemaka ono y’adda ewamukyaala muto n’amutematema nga amulanga bwenzi.
Nangobi agamba bba y’amusanze ayonsa mwana n’ajayo ejjambiya n’amutema olubale ku mutwe, mu mugongo n’emikono nga agezaako okwetaasa.
Akulira eddwaliro lye Iganga Dr Isa Isabirye, ategezezza nga Nangobi bweyavuddemu omusaayi omuyitirivu nga era yenna munafu kati.