Amawulire
Attiddwa mu bukambwe
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Misali e Masaka mu Nyendo , oluvanyuma lw’okugwa ku mulamba gw’omusajja agambibwa okuttibwa abantu abamuyiikidde.
Omugenzi ategerekeseeko lya Kasule nga mutuuze ku kyaalo Kako e Masaka.
Akulira ekyaalo kino Francis Nsubuga agambye nti abantu beebamuyise nga bamaze okugwa ku mulambo guno
Bano baleese embwa enkonzi y’olusu egoberedde okuva awali omulambo era ng’emalidde ku nyumba y’omusawo w’ekinnansi.
Amyuka aduumira poliisi mu bukiikaddyo weggwanga Edward Mugweri, agamba nti poliisi era egudde ku miggo egijjudde omusaayi nga kiteberezebwa nti gyebakozesezza okumutta.
Poliisi etandise omuyiggo gw’abazigu bano.