Amawulire

Ba crime preventers balemedeko kuze mmere

Ba crime preventers balemedeko kuze mmere

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Ba crime preventers abaakola omulimu gw’okuwa poliisi  emeere okwetolola eggwanga wakati w’omwaka 2015 ne 2017 bawadde poliisi nsalensale wa nnaku 5 nga basasudwa ensimbi zaabwe.

Mu kwogerako mu lukugana lwa banamawuliire mu Kampala bano wansi w’omukaago gwabwe national crime preventers bagamba batukirirwa  aba Exodus SACCO mu kiseera ekyo abalina contract  ne babasaba okukola omulimu  ogw’okuliisa poliisi ku biragiro byeyali ssabapoliisi , Gen Kale Kayihura, kyokka ne gyebuli kati tebabasasulanga.

Sentebbe w’ekibiina kino Ronald Rwamakuba agamba bawera abantu 2,000  nga n’ensimbi zebabanja zilyeyo mu buwumbi 14.

Kati agamba singa lutuuka ku bbalaza sabiiti ejja nga tebafunye nsimbi zaabwe bakwekuganya mirembe bolekeere ku kitebe kya police e Naguru.

Bano emeere gye bagabirira poliisi kwaliko akawunga,omuceere,ebijanjaalo,amatooke ,amata ne sukaali.

Wabula ssekamwa wa police Fred Enanga atubulidde nga bano bwe batalina contract na poliisi nga bakolagaana naba Exodus Sacco nga bebalina okusasula sossi police.