Amawulire
Ba-Dokita bagala Museveni alangirire omuggalo mu Kampala olwe Ebola
Bya Rita Kemigisa,
President w’ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda Medical Association Dr Samuel Oledo ayagala Govumenti eveeyo n’okukwasisa amateeka okukakali omuli n’okuteeka ku muggalo ekibuga Kampala okutangira okusasaana kw’ekilwadde ki Ebola ekyongedde okuwanika amatanga mu massekati g’ekibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala.
Kidiridde okweyongera kw’okubalukawo kw’ekilwadde kino nga mu saawa 48 agayise, abantu 15 babakasiddwa okubeera n’ekiwaldde kino eky’e Ebola.
Wetwogerera nga Uganda erina omugatte gw’abantu abasangiddwa n’obubonero abawerera ddala 90, abafudde bali 28 ate nga abalala 28 bali mu kujjanjabibwa.
Kati Dr. Oledo agamba nti Uganda etudde ku bomu nga waliwo ekinene ekisinga awo ekiyinza okugwiira eggwanga mu kaseera akatali k’ewala naddala mu kibuga Kampala buli gyeyekolera ebintu nga bwayagala.
Dr Oledo ayongedde okulabula nga ekilwadde ky’e Ebola abamu batandise okukiteekamu eby’obufuzi naye nga bwebtegendereze kituuse okutuusa eggwanga lino awazibu n’okusinga Covid19.
Dr Oledo agamba nti ekyongera okufuula Ebola obulwadde obuzibu nti edaggala elimukozesebwako okujjanjaba gwebukutte lyabuseere nnyo ate nga ku buli bantu 10 abakwatiddwa Ebola 5 bokka bebalina omukisa ogusobola okuwona.
Gyebuvuddeko banna Kibiina kya People’s Progressive Party balabula Gavumenti obutegezaako kwetantala kuteeka gwanga lyonna ku muggalo olw’okusomoozebwa kwelikyasanga olwomuggalo ogwasooka ogwali ogwa Covid19.