Amawulire
Ba nekolera gyange e Lyantonde bakukulumidde abakuuma ddembe
Bya Gertrude Mutyaba
Ba neekolera gyange mu disitilikiti ye Lyantonde bawanjagidde omukulembeze we’gwanga abayambeko ku b’ebyokwerinda abasusse okubaliisa akakanja.
Bagamba nti babakuba emiggo n’okubasobyako mu budde obwa bwekiro.
Abamu ku bakyala bano bagamba nti abaserikale babakwata ku mpaka kyokka nebabanyagako n’ensimbi zaabwe.
Wabula omuddumizi wa poliisi e Lyantonde Namara Keren alaze okutya nti wandibaawo abantu abatandise okwerimbika mu beby’okwerinda okutigomya abantu.