Amawulire
Ba RDC bali mu woofiisi mu Mateeka-Babalanda
Bya Benjamin Jumbe,
Minisita avunanyizibwa kunsonga zómukulembeze weggwanga Milly Babalanda avudeyo nategeeza nga ba RDC nábamyuka babwe bwebali mu yafeesi mu mateeka.
Kino kidiridde abantu abenjawulo okwemulugunya kungeri ba RDC gye baasigala nga bakola emirimu yadde nga ekisanja kyabwe kyagwako.
Wabula mu kwogerera ku mukolo ogwokuyingira ya feesi ye mu butongole Babalanda yagambye nti RDC tebawukana ku bakozi ba gavt abalala nga okulondebwa kwabwe tekusinzira ku kisanja kya mukulembeze weggwanga.
Ono anyonyodde nti blina okusigala mu yafeesi zabwe okutuusa ngomukulembeze weggwanga akoze enkyukakyuka