Amawulire
Baasobya ku muwala kirindi
Poliisi eriko abasajja 2 b’ekutte nga bano nzaalwa ye Pakistan .
Bano kigambibwa okuba nga beebasobya ku mukyala munnayuganda ekirindi
Ono yali mukozi waabwe.
Abakwatiddwa ye Wangas Muhammed ne Ahmed Shabib nga bano omusango baguzza mu mwaka oguwedde.
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti abasajja bano baali bataano nga bakkakkana ku muwala ono era batuuka n’okumusiyaga