Amawulire

Babiri bafiridde mu kabenje e Mpigi

Babiri bafiridde mu kabenje e Mpigi

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abantu 2 bebafiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kataba okudda e Nakirebe, mu gombolola ye Kiringente mu district ye Mpigi.

Aberabiddeko bategezezza nga taxi namba UAR 076/R ebadde edda e Kampala bweremeredde omugoba waayo, neyambalagana ne Toyota Noah nama UBD 656/K ne Fuso-lorry ebadde ewenyuka obuweewo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Katonga Phillip Mukasa, akakasizza akabenje kano.

Abagenzi kuliko Quraish Ssenkindi omutuuze we Kazo-Bwaise mu division ye Kawempe, atenga omuntu omulala gwabadde naye afiridde mu ddwaliro lye Gombe gyabadde atwaliddwa okufuna obujanjabi.

Kati emirambo gyombi gikyakuumibwa mu ddwaliro lye Gombe.