Amawulire
Bafunye ekyuuma ky’omutima
Abalwadde abakozesa eddwaliro lya Rugarama mu kibuga kye Kabale bafunye ekyuma ky’emitima
Ekyuma kino ekibalirirwaamu obukadde 150 kiwereddwaawo eggwanga lya Bungereza nga liyita mu kibiina ky’obwa nnakyeewa ekya Alongside Africa.
Akulembeddemu okugaba ekyuma kino Lawrence Titterton y’akwasizza atwala eddwaliro Dr Gilbert Mateka ekyuma kino n’ategeeza nga bwekigenda okuyambako ku balwadde b’emitima
Ab’ekibiina kino era balabirira abaali ku nguudo abasoba mu 40 nga babawa essuubi okuddayo okusoma