Amawulire
Balubbira bakyawenja abantu 5 ababidde mu Nyanja Nalubaale
Bya Jessica Sabano,
Okunoonya abantu bataano abakyabuze oluvannyuma lw’akabenje k’eryato akagudde ku mwalo e Kimi ku nnyanja Nalubaale mu disitulikiti yé Mukono olunaku lw’eggulo kukyagenda mu maaso.
Okusinziira ku ttiimu y’abadduukirize abaakulembeddwamu Robert Ssebwami, baasobodde okutaasa abantu mwenda.
Omuserikale w’amagye g’oku mazzi e Mukomo Milton Ekopason, agamba nti eryato lino lyabadde liri mu mbeera mbi, ate nga litisse kabindo nga kigambibwa nti lyakubiddwa empewo ez’amaanyi okumpi n’omwalo gwé Kimi.
Agamba nti eryato lino lyabadde litisse ensawo z’amanda 100, ensawo z’omuceere 40, ensawo z’ebyennyanja 40 n’abasaabaze abatannamanyika muwendo nga bava e Kisaba- Kalangala okutuuka e Katosi -Mukono.
Akabenje kano kaaguddewo nga waakayita essaawa ntono ng’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera y’obudde ekya Uganda National Meteorological Authority (UNMA) kifulumizza okulabula ku bulabe bw’obubenje kubanga empewo ez’amaanyi n’amayengo amanene bikyagenda mu maaso ku nnyanja Nalubaale.
Ekitongole kino kisaba abantu okutwala okulabula kuno nga kikulu.
Empewo n’amayengo g’amazzi bye bimu ku bisinga okuviirako abantu okubbira mu mazzi mu Uganda.