Amawulire
Bamukubidde bulogo
Abatuuze ku kyalo Ntonyeze mu gombolola ye Bukuya mubende bavudde mu mbeera nebasanyawo amasabo g’omusamize agawerera ddala 50 nga bamulanga kuloga bantu ku kyalo n’okuganza nga baka bassajja.
Okusinzira ku ssentebe w’egombolola y’ebukuya Haj Tanula Sulaiman ,omusamize ono abadde amanyiddwa nga Mawejje yeeyambisa eddogo okusengula Fred Ssempijjamu maka ge agali ku kyaalo kino ekya Ntonyeze olwo n’aganza mukazi we nga kw’atadde ne muwalawe naye gweyafula mukazi we.
Abatuuze aboogeddeko naffe batutegezezza nga ng’omusamize ono bweyabise Ssempijja kyonga akyali mulamu ekibajje mu mbeera kwekusalawo okuteekera amasabo ge omuliro.
Poliisi ekkakanya obujagalalo e Bukuya ng’ekulembeddwamu Peter Odeke y’etaasizza Mawejje ku batuuze ababadde bagala okumumiza omukka omusu era ng’ono asobodde okubomba nga kati poliisi etandise okumuyigga.