Amawulire
Bamukwatidde mu bwenzi
Abatuuze ku kyaalo Kazo mu disitulikiti ye Kiruhura balabye katemba atali musasulire omusajja bw’akutte mukyala we lubona nga yegadanga ne mukwano gwe
Erias Ninsiima bano okubagwaako asoose kudda waka n’asanga omwana waabwe ow’emyezi omunaana ng’ali ku lubalaza akaaba ng ataliiko afaayo
Omusajja ono atandikiddewo omuyiggo gwa mukyala we era mukwano gwe amuyambyeeko nebatandika okufuuza buli webamusuubira
Ono kimuweddeko bw’asoose okuwulira amaloboozi ku luggi lwa mukwano gwe era okukonkona ng’amaso agakuba ku mukyala
Omusajja ono akubye enduulu esombodde abantu.
Wabula omusajja ono takoonye ku mukazi we ng’amufunidde piki emututte mu maka gaabwe era n’amulagira okutikka buli kake n’amuzza mu bakadde be