Amawulire

Bamusse, omulambo nebagusibira mu nju

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Serunjogi

Ebadde ntiisa, abatuuze bwebagudde ku mulambo gwa munnaabwe abadde yabula nga gusibiddwa mu nju ye

Omugenzi ategerekese nga Lawrence Mulumba, omutuuze ku kyaalo Kasasa mu gombolola ye Kakuuto, Rakai.

Omulambo gwa Mulumba gusangiddwa abatambuze abawulidde ekisu nga bano beebawaabye eri poliisi n’emenya olujji

Omusajja ono yali yayawukana ne mukyala we ng’abeera yekka era nga kigambibwa nti yattiddwa ab’emitima emibi n’oluvanyuma nebamuggalira mu nyumba.

Omwogezi wa poliisi mu bukiikadddyo Noah Serunjogi agamba nti Mulumba yandiba nga bamuttira walala n’oluvanyuma omulambo gwe nebagusuula mu nyumba ye