Amawulire
Bana battiddwa
Abantu bana beebakubiddwa amasasi agabattiddewo mu kavuvungano akabadde ku baala emu e Mbarara
Bino bibadde mu kabuga Lugazi mu divizoni ye Kakoba mu disitulikiti ye Mbarara
Kigambibwa okuba nti omukozi mu kitongole ky’ebisolo ekya Uganda wild life authority ategerekese nga Justus Nsubuga y’akubye amasasi oluvanyuma lw’okusanga muganzi we n’omusajja omulala
Amasasi gano gavugidde ku bbaala y’omukyala ategerekese nga Susan Namuyimbwa nga naye afiiridde mu kavuyo
Abalala abafudde kuliko ategerekeseeko erya Kajumba, Mbabazi Nayima ne Nikolus Ahumuza omusomesa ku ssomero kya Global College.
Aduumira poliisi ye Rwizi Hilary Kulaigye ategeezezza nga bwebamaze okukwata omusajja ono okuyambako mu kunonyereza