Amawulire

Bana beebali mu kamyuufu ka NRM

Ali Mivule

March 15th, 2014

No comments

Sematimba

Bannakibiina kya NRM abalala babiri bawandiisiddwa okuvuganya mu kamyuufu k’ekibiina

Hajji Twaha Najja y’asoose okuwandiisibwa olunaku lwaleero era ng’ono asuubizza kibuga kisingako ekiriwo kati

Ono addiddwaako Fred Kazibwe omusuubuzi mu Ndeeba nga yye agamba nti azze kumalawo bakulembeze abasuubiza empewo

Yye kamisona akola ku by’okuwandiisa  mu kibiina kya NRM, Dorothy Kisaka agamba nti okutwaliza awamu tewabaddeewo muzibu bwonna nga byonna bitambudde bulungi.

Bano bagasse ku Peter Ssematimba ne Meddie Kasule abawandisiddwa olunaku lwajjo.