Amawulire
Banakyewa babanja nti etteeka lya taaba litekebwe mu nkola
Bya Juliet Nalwooga
Banakyewa abatakabanira ensonga zebyobulamu abegattira u kibiina ekya Uganda National Health Consumers’ Organisation bagala gavumenti esse mu nkola obuwayiro obuli mu tteeka lya taaba erya Tobacco Control Act, 2015.
Ekimu ku biri mu tteeka lino, kwe kukugira abanywi ba sigala okumunyweera mu bifo ebyolukale.
Bano kwefube bamugasseko abasuubuzi abegattira mu kibiina ekya KACITA, nga bayambibwako ne ministry eyebyobulamu.
Mu lukungana lw ebabaddemu olwaleero ku nsoonga eno, Moses Talibita ono nga yalukira ebyekikugu mu kibiina kya Uganda national health consumer’s association ategezeza nga bwe bagala abakulu mu bitongole bino okulaba nga etteeka lisibwa mu nkola mu bifo ebisanyukirwamu.
Essira balitadde ku bintu ebyobulamu ate nga byettanirwa nyo abadigize nga Sisha, nebasaba nekitongole ekiwooza kyemisolo okubiziyizanga okuyingira mu ggwanga.