Amawulire
Banakyewa ku bulwadde bw’omutwe baliko amagezi gebawadde wakati mu kujjukira omwezi gw’abalwadde b’emitwe mu nsi yonna
Bya Mike Sebalu. Abakugu mu bilwadde by’omutwe bawadde gavumenti amagezi okutuusa obujanjabi obusookerwako eri abantu abatawanyizibwa n’ekilwadde ky’omutwe eri ebitundu by’ebyaalo okukendeeza ku muwendo gw’abantu abavaayo okujja okufuna obujanjabi e Kampala.
Bano bagamba nti obulwadde bw’omutwe gulinga musujja nga bwebuba butandika, busobola okukorwako mu malwaliro agasookerwako, wabula eby’embi obujanjabi ekika kino mu bitundu by’omubyaalo tebuliiyo.
Bino byebimu ku bilowoozo byabaagala gavumenti yefumitirize, naddala nga yegatta ku nsi yonna okukuza omwezi gw’obulwadde bw’omutwe ogukwatibwa buli gwakutaano ogwa buli mwaka.
Derrick Mbuga Kizza okuva mu Mental Health Uganda nga bannakyewa abalwanilira eddembe ly’omulwadde w’omutwe, agamba nti ne mu malwaliro amatono agaliwo wetaagisa okussibwayo ebikozesebwa, buli abeera agenzeeyo asobole okufuna obujanjabi obwetaagisa.
Okusinziira ku alipoota y’ekitongole ky’eby’obulamu munsi yonna ey’omwaka 2017, Uganda yateekebwa mu mawanga 06 agasooka okubeeramu abalwadde abatawanyiizbwa nedwadde z’emitwe abantu nga kubano, ebitundu 5.1% bakazi ate ebitundu 3.6% basajja.
Mu nsi yonna, abantu obukadde 70 batawaana n’ebilwadde ekika kino nga ku buli bantu 4, omuntu omu asangibwamu ekilwadde ky’omutwe.
WHO era egamba nti abantu abakola ebitundu
14.3% bebafa mu nsi yonna nga bwebukadde nga 8 buli mwaka olw’ebilwadde ebyekuusa ku mutwe.