Amawulire

Banauganda beekalakaasiza lwa Bazungu kweyingiza munsonga zókusima amafuta

Banauganda beekalakaasiza lwa Bazungu kweyingiza munsonga zókusima amafuta

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Waliwo ekibinja kya banna Uganda ababitaddemu engatto neboolekera Parliament n’ekiwandiiko ekivumilira ebikorwa by’abasajja abeeru luno gyolyabalamu bwebavuddewo nebawakanya eky’okuzimbibwa kw’omukutu ogunatambuza amafuta okugajja e Hoima okugatuusa e Tanga mu Tanzania.

Bano ekiwandiiko babadde bakitwal ku kitebe ky’Omukago gwa Bulaaya wano mu Uganda ekisangibwa ku Crested Towers mu Kampala.

Obutafaananako nga bulijo, bano abalabiddwako nga tewali kibakuba ku mukono, tukitegeddeko nti olutuseewo nebelondamu abantu 3 abakkiriziddwa okutuusa ekiwandiiko kyabwe eri abakwatibwako ensonga.

Sabiiti ewedde, Parliament y’omukago gwa Bulaaya yategeeza nga okuzimbibwa kw’omukuut bwekulina okuyimirizibwa okumala omwaka mulamba nga ensonga eziriko kalimanywera bwezikolebwako omuli obulabe guno gwebunatuusa eri abantu naddala mu bitundu wegugenda okuyita.