Amawulire

Banka y’eggwanga enalondoola “mobile money”

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Mobile money 2

Banka enkulu ey’eggwanga yakutandika okulondoola enkola ya Mobayilo mane

Kino kiddiridde alipoota okulaga nti abantu abasoba mu bukadde omunaana beebakozesa enkola ya mobailo mane.

Mu ngeri yeemu era kino kigenda kukolebwa okusobola okukoma ku bagezi ababadde batandise okukozesa enkola eno okunyaga abantu.

Akulira banka y’eggwanga enkulu Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile agamba nti mu kadde kano bakyakyusa mu tteeka okussaamu obuwaayiro obubakkiriza okulondoola enkola ya mobayilo mane.

Mu kadde kano enkola eno egobererwa kkampuni z’amasimu nga ziyita mu ma banka omuli akawunta zino