Amawulire
Bannabyabufuzi bómu Kampala batadde Gavt kunninga kunsonga zékirwadde kya Covid
Bya Prossy Kisakye
Ababaka ba palamenti nábakulembeze bómu kampala, balaze obwenyamivu olwa gavumenti obutafaayo kuteeka ensimbi mu mirimu gyokulwanyisa ekirwadde kya covid-19
Bano nga bakulembedwamu loodi meeya wa kampala Erias Lukwago ne minisita owekisikirize avunanyizibwa kunsonga za kampala era nga ye mubaka wa Lubaga north mu palamenti Abubaker Kawalya leero basisinkanye akulira oludda oluvuganya gavt mu pamenti ne bemulugunya olwobutaweebwa ensimbi ne ambulance ziyambeko mu kulwanyisa ekirwadde
Kawalya agamba nti Kampala engeri gyeri nti yesinga okubamu obulwadde gavt yandibadde esaawo ensimbi ezimala mu kulwanyisa ekirwadde kino ne bikozesebwa mu malwaliro.
Mungeri yemu Loodi meeya Erias Lukwago akikidde ensingo ssabaminisita Robinah Nabanjja, ne minisita we byekikula kya bantu olwokulwawo okutuusa obuyambi bwa gavt obwensimbi ezomuggalo eri bannakampala ekivirideko abamu okutandika okuvira mu mayumba gabwe.