Amawulire
Bannaddiini basabye baweewo okwegatta okumalawo abaana bókunguudo
Bya Prossy Kisakye,
Abakulembeze b’eddiini basabye wabeewo kaweefube ow’amaanyi okusobola okukola ku kizibu ky’abaana b’oku nguudo mu Kampala.
Okusinziira ku Rev John Awodi, omuwandiisi w’essaza ly’e Kampala, beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abaana okweyongera ku nguudo z’omu Kampala okusinga okuva e Karamoja.
Avumiridde abamu ku bantu ssekinnoomu b’agamba nti baleeta abaana bano ku nguudo okubafunira ssente nga bayita mu kusabiriza n’asaba wabeewo kaweefube ow’omuggundu okuyambako okugonjoola ekizibu kino.
Rev Awodi bino yabyogeredde bweyabadde agabana Ssekukkulu n’abaana b’oku nguudo mu maka ga Uganda Women’s Effort to save Orphans (UWESO) e Masulita.
Obulabirizi bwa Kampala bwawaddeyo emmere, keeki ne ttivvi ya ‘flat screen’ n’ebirabo ebirala eri abaana.