Amawulire
Bannakampala beeralikirivu olw’ekirwadde ekitaamye-Alipoota
Bya Rita Kemigisa,
Alipoota eya Sauti za Wanaichi okuva mu kibiina kya Twaweza eyolese nti bannaKampala ebitundu 95% beelalikirivu nyo ku bikwata ku kirwadde kya covid-19
Okusinzira ku marrie Nanyanzi omukwanaganya wemirimu mu kibiina kino, bannakampala balina okutya kungi olwa bantu abakwatibwa obulwadde na bafa okuba abangi mu muyaga ogwokubiri ogwekirwadde kino.
Ekyokubeera awaka nga tebakola ne biragiro ebyomuggalo bye bimu era ku bisinga okutiisa bannakampala.
Songa waliwo nabamu abatakkiriza nti basobola okufuna obujanjabi obwetaagisa singa bafuna ekirwadde
Kati ebitundu 50% ku bannakibuga batandise okwetanira bokka na bokka okwekuuma ekirwadde nga bambala obukokoolo, okunaaba mu ngalo ne birala
Songa okunonyereza kulaze nti bannakampala abawera 38% tebakyalina mmere yakulya mu muggalo guno.