Amawulire
Bannakyeewa bawakanya eky’okugoba
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu batabukidde abakulira ettendekero lya Bishop Barham olw’okugoba abawala abafuna embuto
Ab’ettendekero lino eririna akakwate ku lye mukono baagobye abawala bonna abaatakola bigezo olw’okubeera embuto.
Enkola yeemu eno eri ne ku ttendekero lye Mukono nga afuna olubuto nga tali mufumbo agobwa
Nga boogerako eri bannamawulire, bannakyeewa bano okulo Robinah Kaitiritimba, Allen Tegulle ne Dennis Odwee bategeezezza nga kino bwekimenya amateeka kubanga tewaliiwo tteeka ligaana muntu alina myaka 18 kufuna lubuto
Wabula ab’ettendekero lino abakulira Rev Prof Manuel Muranga bagamba ntia mateeka gaabwe bwegatyo bwegagamba era nga tebajja kugakyuusa.