Amawulire
Bannakyewa abali mu lutalo lwa mukenenya balaze okutya
Bya Ivan Ssenabulya
Ebitongole byobwanakyewa ebibudabuda abalwadde ba mukenenya n’abaana abataliiko mwasirizi, mu disitulikiti ye Mukono balaze okutya kungeri ekirwadde kya mukenenya gyekiragajaliddwa.
Bano bagamba nti endwadde endala nga mukenenya tezikyafibwako, ngessira abasinga balitadde ku bulwadde bwa ssenyiga omukambwe, wabula bagamba nti nedwadde endala weziri era zitta.
Namusoke Angella, nga yakulira ekitongole kya Compassion Uganda era anenyeza wofiisi ya Ssabaminisita we’gwanga obutalowooza ku balwadde ba mukenenya okubateeka mu balina okuyambibwa.
Bano bagamba nti mu muggalo entambula yabalwadde okugenda okunywa eddagala naye nzibu.