Amawulire
Bannakyewa basabye gavt ku mabanja agatatadde
Bya Moses Ndaye,
Bannakyewa abalwanyisa enguzi basabye gavumenti okukomya okufuna looni ezisikiriza amagoba amangi.
Okusinziira kwakulira ebyémirimu mu kibiina kya Uganda Debt Network, Christine Byingiro, mu kifo kyokulya amabbanja amangi gavumenti yandibadde eddukira mu kwewola ssente ezijja námagoba amatono ate nga tekuli misoso gyamaanyi.
Agamba nti mu kiseera kino Uganda efiirwa obusse bwa sillingi nga 10 buli mwaka olw’obuli bw’enguzi songa kunsimbi zino ekitundu 1% zezinunulwa.
Bino abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olw’awamu olukoleddwa ebibiina ebilwanyisa enguzi omuli Uganda Debt Work, omukago ogulwanyisa enguzi, n’ekitongole kya Transparency International n’ebirala.