Amawulire

Bannakyewa batongoza kawefube ow’okusomesa bannauganda ku tteeka ly’ebisiyaga

Bannakyewa batongoza kawefube ow’okusomesa bannauganda ku tteeka ly’ebisiyaga

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Bannakyewa mu mukago gutakabanira amaka amalungi ogwa Family Life Network, (FLN), batongozza kawefube w’okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga basomesa abantu obukulu bwétteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju, n’okumanyisa abazadde obuvujjirizi bwabwe mu tteeka lino.

Stephen Langa ssenkulu w’omukago gwa Family Life Network, abadde mu lukungaana lwa bannamawulire mu Kampala naagamba nti Uganda tesaanidde kwekyusa ku tteeka lino olwókussibwako ekkoligo lyénsimbi, nti  kubanga ebiseera bya Uganda ebyomumaaso bisaanidde okukuumibwa.

Mungeri yeemu, Norah Itungo, akiikirira abazadde abakyala mu mukago guno, agambye nti abazadde basanidde okukulemberamu okuzza ennono n’obuwangwa bwa Uganda, era nti mu nteekateeka eno tebagenda ku kukkiriza busiiwufu bwampisa kweyoleka mu bannansi.

Basuubizza okutuukirira ebibinja byábazadde ebyenjawulo okutema empenda ku ngeri gyebasobola okukolera awamu ngábazadde okulwanyisa obugwenyufu bwémpisa obwenjawulo.

Okuva etteeka lino lweryayisibwa Uganda ezze enenyezebwa amawanga ga bazungu nga gagamba nti etteeka lityoboola eddembe lyobuntu.

Ne gyevuvudeko banaka yensi yonna yasazizaamu obuyambi bwebadde ewa Uganda lwa teeka lino kuyita.