Amawulire

Bannamawulire abaakubwa baddukidde mu kkooti

Bannamawulire abaakubwa baddukidde mu kkooti

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Bannamawulire 4 abakubwa bwebali bagenze okusaka amawulire senkagale wekibiina kya NUP bweyali atwala ekiwandiiko eri ekibiina kya mawanga amagatte baddukidde mu kkooti nga bagala baliyirirwe olwokutyobolebwa eddembe lyabwe.

Bano bawabidde ssabawolereza wa gavt, omusirikale wa UPDF Lt. Col Namanya Napoleon agambibwa okuba nti yeyaddumira abasirikale ababakuba ngennaku zomwezi 17th/February

Bannamawulire bagala kkooti ejjukize abasirikale nti bbalina eddembe lyabwe okukola emirimu gyabwe awatali kutiisibwatiisibwa na kubatulugunya.

Mubaddukidde mu kkooti kuliko munnamawulire wa ntv John Cliff Wamala okuytita mu bannamateeka baabwe aba Kiiza Mugisha and company advocates bagamba nti bagala bwenkanya kuba abakuuma ddembe basuse okubaliisa akakanja.