Amawulire

Bannamawulire abasibwa olwemirimu gyabwe beyongedde

Bannamawulire abasibwa olwemirimu gyabwe beyongedde

Ivan Ssenabulya

December 10th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Alipoota ku mutendera gwensi yonna, eyafulumiziddwa aba Committee to Protect Journalists (CPJ) munda mu America, eraze nti wabaddewo okweyongera kwabannamwulire abasibwa mu makomera olwemirimu gyabwe.

Omuwendo ogwebyafaayo era ogutabangawo, gwatuuse ku basibe 290 okuva ku 280 nga bwegwali mu 2020.

Alipoota yaabwe eyomwaka gwa 2021 era eraze nti bannamwulire 24 bebattibwa olwokusaka amawulire, baafa era mu mbeera enzibu eyekuusa ku mirimu gyabwe.

Ku lukalu lwa Africa, CPJ banokoddeyo bannamawulire 25 abasibwa mu gwanga lya Misiri, 16 mu Eritrea, 9 mu Ethiopia ne bannamwulire 7 nebasibwa olwomulimu gwabwe mu gwanga lya Rwanda.

Mexico lye gwanga erisnga okutyoboola eddembe lyabanmwulire, nga baatemula bannamawulire 9 mu mwaka gwa 2021 gwokka.