Amawulire
Bannamawulire bakwatiddwa lwakwogera na Mbabazi
Bannamawulire 3 bakwatiddwa amaggye ga Special Forces command lwakwogera ne mukyala Mbabazi nga ono ye Jackeline Mbabazi nga tebafunye lukusa.
Bano kuliko ab’olupapula lwa Daily Monitor okuli Fred Musisi, ne Dominique Bukenya n’owa NTV Sheila Nduhukire.
Bino bibadde wali ku imperial Royale hotel ewategekeddwa olukungaana lw’abakyala ba NRM olukyagenda mu maaso.
Mukyala Mbabazi abadde y’aganiddwa okuyingira olukungaana luno olw’ensonga ezitannategerekeka.