Amawulire
Bannansi ba DR-Congo 3 babakutte bayigga ebinyobyi mu Uganda
Bya Musasi Waffe
Poliisi mu tawuni kanso ye Kihihi mu disitulikiti Kanungu eriko bannansi begwanga lya DR-Congo 3 bekutte olwokuyigga ebinyonyi nokubitta, munda ku ttaka lya Uganda.
Amawulire okuva ku Poliisi ye Kihihi galaga nti abantu bano 3, babakutte nebabatwala okubakunya, oluvanyuma lwokutta ekinyonyi.
Omubaka wa gavumenti e Kanungu, Gad Rugaju akaksizza okukwatibwa kwabwe 3 ngagambye nti era bakitegeddeko nti kino kimenya amateeka kubanga egwanga lya Uganda lissa ekitiibwa mu btonde bwettale.
Abakwate kuliko Mumbere Suwedi wamyaka 17, Enock Bahati wa 16 ne Mako Kiiza owemyaka 14, nga basangiddwa nga tebalina wadde ebiwandiiko ebibogerako, lwaki bayingidde Uganda.
RDC Ragambye nti kino kiretawo okutya mu kiseera nga Uganda eri ku bwerinde, olwebikolwa byabatujju aba ADF.