Amawulire

Bannasayansi Bafunvubidde Ku Ddagala Lya Siriimu

Ali Mivule

May 16th, 2014

No comments

ARVS 2

Abanonyereza ku ku kirwadde kya siriimu bategezezza nga bwebasenvudde mu kuzuula eddagala erinawonya mukenenya ono.

Okusinziira ku akulira amattendekero aganonyereza ku siriimu ono mu ggwanga ekya  National Institutes of Health, Uganda, Steven Reynolds, waliwo eddagala erikyagezesebwa mu ggwanga lya Thailand eriyitibwa RV 144 nga likolera ddala ebitundu kati 41% eri abo abalikozesa.

Bannasayansi bazze bagezaako okuzula eddagala lya sirimu okuva mu gyekinaana naye nga terinazuuka.