Amawulire
Bannauganda bakubirizibwa okuyambako mu kulwanyisa ekirwadde kya Kkokolo
Bya Prossy Kisakye,
Katikkiro w’Obwakabaka bwa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okwetaba mu misinde gya Rotary Cancer Run egigenda okubeerawo ku Ssande eno ku kisaawe e Kololo.
Bino abyogedde akawungeezi ka leero bwabadde asisinkanye banna Rotale abakyadde e Mbuga.
Mayiga ategeezezza nti emisinde gino tegikoma ku kusonda nsimbi za kujjanjaba balwadde ba kookolo wabula era y’engeri endala ey’okukola dduyiro okukuuma omubiri nga mulamu okwewala endwadde.
Mungeri y’emu ssentebe w’akakiiko akategese emisinde egy’omwaka guno, Steven Mwanje, asabye Bannayuganda okukolaganira wamu nabo mu kulwanyisa kookolo.
Ono era ategeezezza nti bamalirizza okuzimba waadi ya kookolo mu ddwaaliro e Nsambya ekola ku kulongoosa n’okujjanjaba obulwadde buno, wabula nga mu kiseera kino tekirina busobozi kukola Radiotherapy.
Bwatyo agambye nti baagala okukozesa emisinde gy’omwaka guno okusonda ddoola ezisoba mu bukadde 4 okuzimba ekifo abasawo we bagenda okwokyera obuwuka bwa kokolo, alina essuubi nti omwaka 2027 we gunaatuukira nga ekifo kino kiwedde.