Amawulire

Bannauganda bongedde okwetanira Yinsuwa zébyóbulamu

Bannauganda bongedde okwetanira Yinsuwa zébyóbulamu

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses,

Okunonyereza okugya kulaga nti wabadewo okwoyongera kwa bantu abetanira empeereza ye yinsuwa ye byobulamu mu ggwanga mu bbanga lya myaka 8 egiyise

Nga mu mwaka gwa 2021 kampuni za yinsuwa yafuna obuwmbi 245 okuva 108 nga bwezaali mu 2014

Okunonyereza kuno kwakolebbwa ekitongole ekirungamya kampuni za yinsuwa mu ggwanga ekya Insurance Regulatory Authority nga okunonyereza kwesigama nyo ku bibuga okuli Kampala, Masaka, Mbarara, Fort Portal, Arua, Gulu, Mbale, ne Jinja

Akulira ekitongole kya IRA Lubega Kaddunabi, agamba nti okunonyereza kuno kulaga nti bannauganda bangi aboongedde okutegeera obukulu bwa yinsuwa ye byobulamu.