Amawulire

BannaYuganda abali mu 100 bebali mu Ukraine

BannaYuganda abali mu 100 bebali mu Ukraine

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Banna-Uganda abali mu 100 bebakwamidde mu gwanga lya Ukraine, basobeddwa tebamanyi kiddako wakati mu lutalo olwatandise mu gwanga lino.

Amagye ga Russia gaalumbye Ukraine olunnaku lweggulo, oluvanyuma lwolutalo lwebigambo olubaddengawo.

Olutalo lno lwogeddwako nti lwerukyasinze mu Bulaaya, ngolwasemba okubeerawo yali Ssematalo owokubiri II emyaka 77 ejiyise.

Banna-Uganda ababeera mu kibuga ekikulu Kyiv abatayagadde kubatukiriza mannya bagambye nti bali ku bunkenke.

Omukulembeze wegwanga Volodymyr Zelenskky yalangiridde embeera eyakazigizigi, atenga yayise ne bannansi abesobola babawe ebyokulwanyisa, balwanirire egwanga lyabwe.

Abamu ku baana battu abali mu Ukraine kuliko abakozi nabayizi, wabula minisitule yensonga zebweru wegwanga e Kampala nabakulu ku kitebbe kyabwe e Moscow mu Russia, bagambye nti tebanakakasa muwendo gwabanna-Uganda abali mu Ukraine.

Minisita omubeezi avunanyizibwa ku nkolagana namawanga amalala Henry Okello Oryem agambye nti ddala tebamanyi muwendo mutuufu.

Amawulire galaga nti olutalo luyingidde mu lunnaku olwokubiri, ngebikompola kankank biwulugumira mu kibuga ekikulu Kyiv.

Meeya wekibuga Kyiv nga ye Vitali Klitschko nakakasa nti waliwo nabantu abalumiziddwa.