Amawulire

BannaYuganda basabiddwa okweyambisa emitimbagano

BannaYuganda basabiddwa okweyambisa emitimbagano

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

BannaYuganda basabiddwa okweyambisa zzi looni ne ssente zebaali baatereka, okutereeza obulamu bwabwe wakati mu ssenyiga ono omukambwe.

Omulanga guno gwakubiddwa, mu musomo ogubadde gukwata byensimbi ogwategekeddwa Airtel Uganda nga guvugidde ku mubala; Transforming Lives Through Digital Microfinance: Savings and Loans.

Abakugu mu busubuzi, balaze obwetaavu okweyambisa tekinologiya okukola emirimu okukyusa obulamu.

Joseph Lutwama, akulira ebyemirmu ku Financial Sector Deepening–Uganda agambye nti tekinologiya asoboka, okukozesebwa okusembeza obuwereza mu byensimbi.

Ebibalo okuva mu kitongole kya Financial Sector Deepening Uganda, bannaYuganda 5% bokka bebewola ssente muzi banka.