Amawulire
Bannayuganda besunga paapa
.Bannayuganda batandise dda okwesunga okukyala kwa paapa omwaka ogujja
Olunaku lwajjo paapa yategeezezza nga bweyesunga okujja mu Yuganda nga bino yabyogedde asisinkanye omukulembeze w’eggwanga.
Ababaka ba palamenti beebasoose okwaniriza ekyasaliddwaawo paapa nga bagamba nti paapa ajja n’emikisa
Twogeddeko n’ababaka Medard Ssegona, Margaret Kiboijana ne Joseph ssewungu wabula nga bagamba nti gavumenti efune eky’okuyiga ku paapa ng’ekolagana bulungi nebwebatakwatagana ndowooza
BBo abantu ba bulijjo bagamba nti gavumenti yandibadde ebawa ku mukisa nabo beerabire ku paapa