Amawulire
Bannayuganda e South Sudan bali ku mpiso
Bannayuganda abakyatubidde mu ggwanga lya South Sudan bandituusibwaako obulabe.
Abakulembeze okuva mu bitundu ebiriraanye eggwanga lino bagamba nti ekya Uganda okweyingiza mu nsonga ze Sudan n’ebigambo ebyogerwa pulezidenti byolese okussa bannayuganda mu matigga
Wetwogererera nga bannayuganda abasoba mu mitwalo 2 beebakyaali mu South sudan nga bano bali mu bibuga nga Jonglei ne Bor
Omubaka akiikirira Municipaali ye Arua, Bernard Atiku bannayuganda bangi kati bawenjebwa abawagizi b’eyali amyuka pulzidenti Riek Machar ekintu ekissa obulamu bwaabwe mu matigga.
Ono gavumenti agiwadde amagezi okuddukira mu b’ekibiina k’amawanga amagatte okulaba nti bayambako mu kutangira embeera y’obulumbaganyi ku bantu baayo.
Amaggye g’eggwanga gakyagenda mu maaso n’okuddusa bannayuganda nga n’olunaku lwajjo waliwo abanunuddwa