Amawulire
Bano babbira abayizi ebigezo
Poliisi e Luweero ekutte abakulira amasomero 2 lwakubbira bayizi bigezo bya kibiina ky’omusanvu. Abakwatidwa kuliko Hadijah Namatovu Owa Ntumwa primary school, Ne Siraje Ssegujja owa Nsaasi UMEA primary school. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi atugambye nti bakizudde nti omukyala Namatovu yafuna abayizi okuva ku somero lya Katikamu SDA nebakolera abayizi ba pulayimale ebibuuzo ekintu ekimenya amateeka . Kati bano baweerezeddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi mu Kampala okunoonyerezebwaako.