Amawulire
Banyaguludde Ekelezia
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’ababbi ba nkuyege tetya ssabo abaalumbye e Kanisa ya Kitasa nebabulawo n’ensimbi ezitanamanyibwa muwendo.
Bwana Mukulu w’ekigo ky’ekanisa eno Rev. Fr. Aloysius Kamulegeya ategezezza nga ababbi bano bwebaamenye ofiisi y’omuwandiisi nebabbamu ssente ezawereddwawo abagoberezi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji agamba ababbi ennaku zino tebakyatiira ddala masinzizo nga manji ganyaguluddwa kale nga eby’okwerinda bisaana okunywezebwa.