Amawulire
Bapulida bagambibwa okutta Kirumira bagala agibweko emisango
Bya Ruth Anderah,
Ba pulida b’omusajja Abubaker Karungi agambibwa okwetaba mu kutta eyali omusirikale wa poliisi, Mohammed Kirumira basabye kkooti emwejereze omusango.
Bano bagamba nti oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obulumika omuntu wabwe nti ddala ye yatta Kirumira ne mukwano gwe Resty Mbabazi Nnaalinya.
Olwaleero oludda oluwaabi lwerusose okusaba kkooti enkulu wano mu Kampala esingise Karungi omusango nga yesigama ku sitatimenti jeyakola ng’akiriza.
Wabula ba pulida bano bagamba nti omuntu wabwe basooka kumutulugunya nga tanakola sitatimenti eyo, era nti byona ebirimu bya bulimba.
Bategezezza omulamuzi Margaret Mutonyi nti ebbaluwa y’omusawo Santos Ojaro eyakolebwa nga October 2nd 2018, Karungi yasangibwa n’ebiwundu ku Mutwe, kumugongo ne kumumwa ogw’awansi era omusawo ono n’agamba nti ebiwundu byaali bya Sabiiti emu, ekiraga nti bamutulugunya.
Oludda oluwaabi lugamba nga September 8th 2018 e Bulenga mu disitulikiti ye Wakiso, Abubaker Karungi n’abalala abakyanonyezebwa batta omusirikale wa poliisi Mohammed Kirumira ne Resty Mbabazi Nnaalinya.