Amawulire

Basaddaase Omwana

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

 

Lamcek Kigozi

Poliisi e  Buikwe  eriko abasawo b’ekinansi 2 bekutte ku bigambibwa nti baasaddaase omwana.

John Kisawuzi ne  Ben Ssekamwa kigambibwa nti nga 14 omwezi guno baawamba  Jimmy Luyinda  ow’emyaka 17 nga mutabani wa  Ssango Luyinda omuvuzi wa bodaboda ku kyaalo Luleega nebamusaddaaka.

Oluvanyuma omulambo gw’omwana ono gwaasuliddwa mu kasiko kumpi n’amaka ga jajjawe gwabadde abeera naye Tereeza Namutebi nga gusaliddwako ebitundu by’ekyaama n’omukono gwaddyo .

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lameck  Kigozi agamba bano essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti bavunanibwe nga n’okunonyereza bwekukyagenda maaso.