Amawulire
Basatu babayiiridde Acid
Abantu basatu okuva mu maka gamu bayiiriddwa Acid nga kati bali bubi mu ddwaliro e Mulago.
Omuntu atannaba kutegerekeka bano yeeyabayiiridde Acid nga bali mu motoka yaabwe
Mu bataawa kwekuli n’omwana owa wiiki emu.
Bazadde b’omwana ono bategerekese nga omwami n’omukyala Kakaire Kassimu abatuuze ku kyaalo Namavudduku luguudo lwe Gayaza.
Ababiri bano bafumbo era ng’egyaabwe bagikakkalabiza ku kontayina Village mu Kampala.
Babadde bava Nyenga mu disitulikiti ye Buikwe okulaba ku bakadde baabwe.
Bbo abasuubuzi ku konteyina village abazze okulaba ku banaabwe abali obubi bagaala poliisi enonyereze ku nsonga eno era omusajja eyakikoze avunaanibwe.