Amawulire

Basatu babbidde

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

fishermen new

Abantu basatu okuva mu maka gamu babbidde.

Bano babadde basabaalira ku lyaato ku Nyanja Kijanabaloora mu disitulikiti ye Rakai.

Eryaato lino libadde ligenda ku kyaalo Bulyaana

Abagenzi bategerekese nga Lawrence Ssango abadde akuba enkasi, , Florence Nanyanga ne Rachael Nantongo, nga bonna baana ba Frank Mugerwa owe Bulyaana

Akulira disitulikiti ye Rakai ku mwaalo guno, Isaac Sserugo agambye nti abagenzi babadde bagezaako kusomoka naye nebigaana era nga bafudde bagezaako okuwuga